Monday 4 March 2013

Pastor David Kiganda finds new rib from Zimbabwe after divorce



 Pastor Kiganda and wife Cindy Karonga yesterday. PHOTO BY Martin Ssebuyira 

FIRST READ:


Pentecostal Spiritual politics amidst the impending election of a new leader for the NFBPC: Bishop David Kiganda uses Mathew 19:9 to get a new wife amidst pressure from his congregation


 

City pastor finds new rib after divorce

http://www.monitor.co.ug/News/National/City-pastor-finds-new-rib-after-divorce/-/688334/1710344/-/cek69b/-/index.html

By MARTIN SSEBUYIRA

Posted  Monday, March 4  2013 at  02:00

In Summary
The pastor, whose first marriage was mired in witchcraft and adultery allegations, will marry his Zimbabwean fiancée on April 6.

Kampala
Believers at the city-based Christianity Focus Centre yesterday witnessed their Pastor David Kiganda formally introduce his Zimbabwean fiancée Cindy Karonga to the congregation.

The church was filled to capacity with others viewing the events on a projector placed in the compound. At 2pm, a vintage Limousine with a personalised number plate entered the church gate throwing the flock into excitement.

Pastor Kiganda accompanied by pastors Franklin Mondo Mugisha and Michael Kyaze, picked the bride-to-be and marched to church amid claps. “The enemy attacked my camp seven years ago wanting to bring me down using my wife to defy our bed,” Pastor Kiganda said. “I cried to God over my agony and he showed me this lovely, God fearing woman in Harare,” he said.

Ms Karonga said she has kept her body pure awaiting a God-fearing man who would take her as his wife.

“When David approached me three years back, I asked for time to investigate him and pray about his request until God answered my prayers,” she said.

News made rounds last week that pastor Kiganda, is set to re-marry. This follows the dissolution of his first 20-year old marriage that was rocked with adultery and witchcraft scandals since 2006.

The High Court dissolved the pastor’s union with Hadija Nasejje last month. The couple, that have five children together, wedded on October 27, 1991, at Victory Christian Centre, Ndeeba, Kampala.



Kiganda alaze omukazi gw’agenda okuwasa


Bya Moses Lemisa

EKKANISA y’omusumba David Kiganda mu Kisenyi yakutte omuliro ng’alaga mukaziwe Cindy Karonga enzaalwa ya Zimbabwe gw’agenda okugattibwa naye empeta mu mwezi ogujja ogwa April.

Kiganda ne kabiite we baayingiddewo ku ssaawa musanvu ez’emisana nga bakulemberwa bandi wamu ne kabangali ya poliisi olwo Ekisenyi kyonna ne kibuutikirwa enduulu n’emizira bakira ebiva mu kkanisa eyajjuzza n’ebooga.


Cindy yakumbye mpolampola ne munne ne bayingira kkanisa wakati mu ssanyu, olwo buli ssaala eya buli kika n’esabwa.

Cindy yeeyogeddeko eri abagoberezi nti yasomerera bya wooteeri nga kati asoma ddiguli ya bya ddiini, mwana wakuna mu famire, tafumbirwangako era tazaalangako.

Kiganda yannyonnyodde nti baasisinkanira South Africa gye yali agenze okubuulira enjiri
okuva olwo ne batandika okuwuliziganya.

Omuwala yamutwala mu bazadde be e Zimbabwe gye yasasula omutwalo ne bamumuwa.

Yajjukizza abagoberezi be nti ebyagwa mu makaage baabimanya bwe yakwata mukyala we Hadijah Nassejje mu bwenzi n’omusiisi wa chapatti Mukwasi era abadde amaze emyaka musanvu ng’anoonya omukazi omutuufu agya mu kitiibwa kye nti era y’ono gwabaleetedde.


Omusumba Micheal Kyazze owa Omega Healing Centre ye yakulidde okubuulira n’avumirira ebikolwa by’obwenzi ebiri mu makanisa.


Bino bijjidde wakati mu kusika omuguwa ng’abasumba abamu bawagira Kiganda okuwasa ate
abalala nga bakiwakanya.


Buli ludda luwa ensonga zaalwo era ng’abawakanya Kiganda baagala asonyiwe Nassejje kuba eddiini etambulira ku kusonyiwa.

Wadde ng’olukiiko lw’abakadde b’ekkanisa telunnawa nsala yaalwo gye lwasuubiza olwaleero,

Kiganda awera nkolokooto nti tewali musumba alina buyinza bumuwa lukusa luwasa oba obutawasa ye ajja kugoberera Bayibuli.



Omusumba Kiganda asazeewo okugenda mu maaso n’embaga ye

Bya RICHARD KAYIIRA
OMUSUMBA David Kiganda asazeewo okugenda mu maaso n’embaga ye, wadde nga waliwo okusika omuguwa okuva mu bakulembeze b’Ababalokole mu ggwanga abakyagisimbidde ekkuuli.

Ategese embaga bbiri ng’emu yaakubeera e Zimbabwe gye bazaala Paasita Cindy gw’ategese okugattibwa naye ate embaga endala yaakubeera mu Uganda.

Kiganda asumba ekkanisa ya Christianity Focus Centre yakakasizza olwa April 6, 2013 nti lwe lunaku kw’agenda okugattirwa ne Cindy n’agattako nti entegeka zonna zikyagenda mu maaso nga bwe zaategekebwa.

Yagambye nti ekintu ekikulu ky’akulembeza ye Bayibuli era olw’okuba nti ekirambika mu Matayo 19:9 nti omuntu asobola okwawukana ne mukazi we olw’obwenzi, kino ky’agoberera.

Bino byonna biddiridde Kiganda okwawukana ne mukazi we Hadijah Nassejje gwe yali amaze naye emyaka 18 mu bufumbo obutukuvu ng’amulumiriza obwenzi ku musiisi wa chapati eyategeerebwako erya Mukwasi mu 2006.

Kiganda ne Nassejje balina abaana bataano era asembayo obuto ali mu S2.

Abasumba abawerako okuli n’abakulembeze nga Joseph Serwadda, Alex Mitala kino bakiwakanya nga bagamba nti emitendera egimu egiyitibwamu okutuuka ku kusalawo okugattibwa ogwokubiri, Kiganda tannagituukiriza; kyokka Kiganda yagambye nti byonna yabituukirizza.

Kiganda yabadde ayogerera ku leediyo ye eya Kingdom FM mu pulogulaamu “Africa Have Your Say” ekubirizibwa Omusumba Martin Ssempa ku Lwokuna.

Ayogedde bwe yasisnkana Cindy Kiganda yagambye nti emyaka 7 gy’amaze bukya ayawukana ne Nassejje agikozesezza okunoonya omuntu omutuufu era yeewala okumufuna mu kkanisa ye oba mu Uganda kubanga kitera okuleeta enjawukana mu bagoberezi.

Yagambye nti yasisinkana ne Cindy mu Johannesburg mu South Africa mu lukung’aana lw’enjiri olwaliyo emyaka esatu emabega ne basiimagana era ku Ssande eno lw’agenda okumwanjulira abagoberezi be mu kkanisa ye.




Sserwadda alaze w’atuuse ku nsonga za Paasita Kiganda


Bya RICHARD KAYIIRA
OMUSUMBA Joseph Serwadda akoze lipoota ey’ekiseera ku by’embaga ya Paasita David Kiganda mw’alagidde w’atuuse ku bintu ebitaano by’alina okunoonyerezaako nga tebannasalawo kya nkomeredde.

Dr. Serwadda akulira enzikiriza y’Obulokole mu Uganda yagambye nti lipoota eno agikolako kubanga Kiganda yennyini yamusabye ayingire mu by’embaga eyookubiri gy’ategeka okukola wabula ng’eriko okusika omuguwa olwa
mukazi we ow’empeta Hadijah Nassejje okugisimbira ekkuuli.


Serwadda ye yagatta Kiganda ne Nassejje mu bufumbo obutukuvu mu 1991 mu kkanisa ya Victory mu Ndeeba.

Lipoota yeesigamiziddwa ku mitendera etaano okuli okusisinkana Nassejje eyayawukana ne Kiganda ng’amulumiriza obwenzi mu 2006, okusisinkana abaana ba Kiganda, okwogera n’abakulembeze b’ekkanisa ya Kiganda eya Christianity Focus Centre mu Kisenyi wamu ne Kiganda yennyini; okusisinkana obukelembeze bwa National Fellowship for Born Again Pentecostal Churches (NFBAPC) obutwala Kiganda kw’ossa n’okutuuza olukiiko olugatta enzikkiriza
y’Obulokole mu Uganda.


Alaze nti ku mitendera etaano gy’alina okukolako, yaakatambuzaako ebiri okuli ogw’okusisinkana Nassejje n’abaana ba Kiganda n’ababuuza endowooza zaabwe ku kya Kiganda okuwasa omukazi omulala.

Yategeezezza nti baayogedde ku nsonga nnyingi ne Nassejje kw’ossa n’abaana mu nsisinkano ebbiri ez’enjawulo ezaakulungudde essaawa 2 n’eddakiika 53 era ebyavuddemu byonna waakubissa mu lipoota esembayo gy’anaakola ng’amaze okuyita mu mitendera etaano era ebinaaba bizuuliddwa kwe banaasinziira okusalawo ekisembayo ku ky’okukkiriza Kiganda okuwasa oba okumugaana.

Wabula yasabye ensonga eno ekwatibwe mu ngeri ya bukkakkamu awatali kwereega bikya kireme okutyoboola enzikkiriza ya bulokole n’abakulembeze baayo, n’agamba nti emitendera gyonna bwe ginaggwaayo, baakutegeeza eggwanga ekinaaba kisaliddwaawo.

LIPOOTA ENDALA EKOLEDDWA

Omuwandiisi wa NFBAPC mu kitundu kya Buganda, Joshua Lwere yategeezezza Bukedde eggulo nti nabo bakoze lipoota gye baweerezza mu lukiiko lw’abakadde b’ekkanisa lusalewo ku nsonga eno era basuubira okufuna ekinaaba kisaliddwaawo ku Mmande ya wiiki ejja.


Lwere yagambye nti bbo ng’abakulembeze mu kibiina ekigatta Abasumba b’amakanisa g’Abalokole tebasobola kwemalirira ne basalawo ku nsonga eno.

Ensonda zaategeezezza nti lipoota eyakoleddwa eraga ebisembeddwa Abasumba ba NFBAPC era abasinga ku bbo baawagidde ekya Kiganda okukkirizibwa okuddamu okuwasa empeta ne banokolayo n’ennyiriri mu Bayibuli eziwagira
kino okuli Matayo 19:9.


Baayongeddeko nti baakakasa awatali kusigalamu kakunkuna nti Nassejje yeenyigira mu bwenzi era ye kennyini (Nassejje) ne yeetonda mu lujjudde lw’abantu ng’akakasa nga bwe yayenda n’okwenyigira mu by’obulogo nga bino kwe basinziira okuwagira Kiganda awase omuntu omutuufu.