Tuesday 6 April 2010

Walusi Satanists bring devils to protect the Palace of the King of Buganda

My translation


Walusi Satanists bring devils to protect the Palace of the King of Buganda

A group of satan worshipers from Walusi in Bulemeezi under the leadership Sserwaniko Kasajja and Nambi Bbeererimu have come to ensure that Buganda’s chief devils(emisambwa) enter the king’s palace. Some of these Satanists are dressed in backcloths while others are clad in very dirt clothes. They are frequently smoking pipes(devil invocation ritual).

They have baskets and paraphernalia used in worshiping satan. They have spent several days at the entrance of the Mengo palace called Nnaalongo near the king’s lake.

Sserwaniko says that their coming to this place was supported by Mugema. They walked to this place on foot. These people say they will not leave this place until Buganda’s devils are restored in all Baganda clans.

Sserwaniko says that they have not come to shed blood. They have informed the police. These Satanist want the Nnaalongo gate of the king’s palace opened so that the devils can enter. They want to assist the devils to enter the palace through this gate and after go back home.

People from different parts of Buganda are poring in this area so that these devil worshippers cleanse them of omens.

These people came with surprises; they have a three months baby who speaks. This baby is not allowed to speak until the devils authorise it. They have vowed to camp at the entrance of the king’s palace until their mission is accomplished

They say that this is the time to protect Buganda


Ab’e Walusi baleese emisambwa gikuume olubiri

http://www.ggwanga.co.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=556:abe-walusi-baleese-emisambwa-gikuume-olubiri&catid=73:obuwangwa&Itemid=417

Bya Dan Lubowa

Ekibinja ky’abantu abeeyise Abaluutansozi okuva ku lusozi lw’e Walusi mu Bulemeezi nga bakulembeddwamu Sserwaniko Kasajja ne Nambi Bbeererimu bagamba nti oluvannyuma lw’ebbanga lye bamaze nga batabaala mu nsozi, tekibamalidde kukakasa bantu ba bulijjo kutegeera nsonga za Buganda, basazeewo bayingize emisambwa gya Buganda mu Lubiri.

Abamu ku bantu bano, beesibye embugo, abalala bali mu ngoye ezigubye, bafuuwa emmindi n’okukuba ensaasi entakera. Balina ebibbo n’ebirala eby’eyambisibwa mu kusamira era bamaze ku Mulyango gw’olubiri lw’e Mengo oguyitibwa Nnaalongo, oguli mu mbiriizi z’olubiri ku luuyi lw’ennyanja ya Kabaka okumala ennaku eziwerako.
Sserwaniko agamba nti okujja kwabwe mu kifo kino bawagiddwa Omutaka Mugema nga n’okutuuka awo baatambuzza bigere.

Bawera nti si ba kuva wano, okutuusa ng’ensonga eyabaleese ey’okuzzaayo emisambwa mu bika byabaganda bagimalirizza.

Sserwaniko agamba nti tebazze kuyiwa musaayi era baamaze dda okutegeeza ab’obuyinza bonna era ne poliisi ekimanyi nti balina okuggulawo omulyango gwa Nnaalongo bayiseewo emisambwa oluvannyuma baddeyo gye baavudde.

Abantu okuva mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo, beeyiwa ku Nnaalongo okunaazibwako ebisiraani.

Ekibinja kino kizze n’ebyewuunyisa anti balina n’omwana ow’emyezi 3 ayogera, takkirizibwa kulabwako okuggyako ng’ emisambwa gimaze okukkiriza era bagamba nti ssinga tebakkirizibwa kuyingira, bajja kubeerawo okutuusa nga ekyabaleese kiwedde.
Bagamba nti kino ky’ekiseera mwebalina okutaasiza Obuganda.